yankutudde - david lutalo lyrics
omuntu gwe nasomosa
ne buk*malamu obwo obuntu obutono
nootakola bye wasuubiza, oh oh!
amaziga ge nakungula
gwe gwe nali manyi nti mazima tuliba bumu
ppaka bwe tulikaddiwa, ooh!
mazima naggya wa omwesigwa?
oyo gwe mbuuliranga ebyama byange
naatabibunya gy’ayita, eh eh!
oyo atammaze kwegula
gwe nalaganga gye ntereka ebyange
naabulako kyabuza, eeh!
by’afuna bye batunuulira, eeh
lwe biba bibuze nga batunula walala
tebayagala bibasumbuwa, ooh!
lwaki wanneefuulira?
gwe eyaŋŋumyanga n’okaaba amaziga
kulwa bali bye bankola, eeh!
yakiyiye (yankutudde)
tabirinako (eeh eh)
yakyuse (yankutudde)
yazize omulyo ooh
yakiyiye eh (yankutudde)
alaga tabirinako oh (eeh eh)
namenyese (yankutudde)
bino ssikyabiddako ooh
emikwano kati gya kifеre*re
emitima mikalu kati gyereezе
bwonna obwesigwa mu bantu bwagenze
sitaani atuli ku migongo yeeweese
baffe be batutugumbula
oyo gw’olina owook*mwanjo ddala
abalabe y’abasaggula, eeh
gwe weesiga y’akupangira, ooh
gw’owakanira ennyo ennyo
y’akubajja ku mugongo tebeesigwa, ooh
kiki ekyakutabangula?
nootafunamu ku ndowooza ndala
kukoma kw’ebyo bye w*nkola, eeh!
jjukira bye wali wasuubiza
n’ondayirira nti nno magombe
mpozzi ge galitusattula, ooh!
mpulira mmenyese mbikooye
era nzikirizza ŋŋonze
yandibadde omulala nga ssi gwe
eyandekesa byonna mbe naawe
kirabika ssirisiimibwa nze
oba nga n’ow*nge akaaye
yakiyiye (yankutudde)
tabirinako (eeh eh)
yakyuse (yankutudde)
yazize omulyo ooh
yakiyiye eh (yankutudde)
alaga tabirinako oh (eeh eh)
namenyese (yankutudde)
bino ssikyabiddako ooh
nasigala ku mutego, eeh eh
ng’ow*nge y’antunze eddobo
yandeka mu bisago
ye yeeyagala ali eri ssebo
bano basala bulago
tobamalirako mwoyo gwo
batutunda muwogo
ng’obulamu bwo abulyamu enkoko
teebereza gwe nabuulira
buli kyama kyange ne nkisensula
gyali teyansaasira, ooh
kale nga yaŋŋumyagumya
mbu ye wa njawulo ddala
n’ansaba omutima ne ngubikkula, eeh
herbert sk!llz pon deh one
yakiyiye (yankutudde)
tabirinako (eeh eh)
yakyuse (yankutudde)
yazize omulyo ooh
yakiyiye eh (yankutudde)
alaga tabirinako oh (eeh eh)
namenyese (yankutudde)
bino ssikyabiddako ooh
Random Song Lyrics :
- know her - slvmbrs lyrics
- break - over n' out lyrics
- talkin' walls - saige davis lyrics
- zeig dir meine stadt - young lime & absent lyrics
- tripping with you - shed seven lyrics
- i like it with you - daniel levi (est) lyrics
- apologies - klank lyrics
- honeybee - ting tang tina lyrics
- гардиан (guardian) - полумягкие (polumyagkie) lyrics
- man pool mikham - shapur lyrics