lirikcinta.com
a b c d e f g h i j k l m n o p q r s t u v w x y z 0 1 2 3 4 5 6 7 8 9 #

letter to babaluku - bana mutibwa lyrics

Loading...

dear silas

gwe muzira w*nge gwe manyi akyali ku nsi

leero nsazeewo nze mbake ekalamu mbisse wansi
nga bwetw*tera okalanga mu rap class
watuyigiriza obala beats nga zi encesence, ne girl you know

naye enaku zino omukwano gwagenda
bwe nkusanga kukkubo nkuyitako ngenda
ye david gyeyalaga simanyi oba alidda
musubwa ku sunday nga ateledde munsonda

twandizeeyo e makindye netuba ffembi
nga omwaka gwa 2009 gwali gwa nk*mbi
twapoota ne maughan girl ku nkambi
art class ebisiige byali bya xubie
jukiramu rehearsal z’ekiro awo ne bb
weyakuba omukyele sikata amele еntumbi

waba kitaffe fenna bwetwajja kunyumba
oluusi twayomba, olumu twalwana
nga tukuloopеla obusonga bw’embwa ng’abaana
tetwegaana oluusi twakuleekanya
nga tukusaba otuwe obuvaazi obwaali obwelinnya
’’we ride bodas’’ obuwojjolo nga twalinnya

tw’alina elinya mu city
ku club rouge anti nga ndi ku duty
every tuesday gonna g’ali mazima
ekituufu girl wo oyo roshan sikaaki ng’ankyoma

jukiramu time nga ne mugagga w’ali
ku stacy ne amy nga mw’akuba olwaali
blaze tali kampala simanyi nange gy’ali
mimi ne grace bakutumide gyebali
ne destreet art emaali aky’akola ez’akabi
luga flow army, mu city lye jje lya’babi
ze nsigo zewasiga amakungula k’ebe ngabo
ekutte luga flow yye y’atagalwa balabe bo

nkulengera kukitabo, oky’ali byantalo nnyo
otufumbira kaki chief, nga oluddewo nnyo
tulinze, naffe obwaffe tubupanze bulinze
osumulule omulilo tuguzze

like father like son, siva ku plane
nawano wendi omulamwa kwendi nky’akuba plan
nsonda jjaani, nange ntuukeko e new york
mu dc, mu philly ne canedicade
ngendeko ku trinity nkukooneko ku simu yo

nti hallo babs oliwa nyingiddewo mu vancouver
nga omutambuze the world traveller ye ngombo kwe siva

ngambira horra sias, the war is over
bw*ngwako ku block ambogeko nga gweyazaala

negwozadde akuba luga ate nafuna ekitiibwa

yours sincerely

sigande nze bana mutibwa

Random Song Lyrics :

Popular

Loading...